Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Mawero East B mu Tawuni Kanso y’e Busia mu disitulikiti y’e Busia, omwana eyabula, bw’asangiddwa nga yattiddwa ng’omulambo gwe gusaliddwako ebitundu by’ekyama.
Mercy Bridget Mwanga, abadde mu gy’obukulu 16 era abadde omuyizi mu kibiina eky’omukaaga ku Mawero East Primary School, yabula omwezi oguwedde Ogwomukaaga nga 6 kyokka omulambo gwe, gusangiddwa nga gusuuliddwa okumpi n’amaka g’abazadde be.
Omulambo, gusangiddwa nga gusaliddwako amabbeere, ekitundu ku bitundu by’ekyama, ekitabudde abatuuze nga bakulembeddwamu ssentebbe w’ekyalo Peter Paado nga bagamba nti omwana waabwe yasaddakiddwa.
Maama w’omugenzi Patricia Ajambo ssaako ne kitaawe Boniface Mwanga bagamba nti omwana yandibanga yatwalibwa abantu mikwano gya famire nga balina kumutta mu ngeri y’okusaddaka olw’okutya okubalonkoma.
Wabula akulira Poliisi ku kitebe kya Poliisi e Busia Patrick Lule agumizza abatuuze era agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga y’ettemu eryo.