Kyaddaki Ssenga Kawomera avuddeyo ku nsonga y’abaana abawala okulumizibwa nga bali mu kaboozi.
Ssenga agamba nti afunye okwebuuza okuva ku bawala ab’enjawulo nga balumizibwa nga bali mu kwegatta wabula gamba nti omuwala yenna talina kulumizibwa nga yeegatta, kubanga okwegatta tekulumya.
Ssenga Kawomera agamba nti abamu ku bawala abato bayinza okulumizibwa mu kwegatta kubanga obukyala bubeera buto nga tebulina laasitiika bulungi okumira waaya era oyinza okufuna obulumi.
Mungeri y’emu Ssenga agamba nti omuwala yenna bwe yeegatta nga tafunye bwagazi ku musajja gwali naye, ayinza okulumizibwa. Agamba wadde obukyala buyitamu omwana, bufunda omukyala n’awulira ng’obusajja bunene nnyo mu kwegatta.
Ssenga era agamba nti waliwo endwadde z’ekikaba eziyinza okuleeta obulumi. Ssinga omuwala abeera ne kookolo w’omumwa gwa nnabaana oba kookolo w’omu bukyala, bwe yeegatta afuna okulumizibwa era agamba nti okugenda mu ddwaaliro kisinga byonna.