Maama weyaliko omuduumizi wa poliisi Kale Kayihura afudde. Catherine Tibemanya Mukarwamo – 92 afudde enkya yaleero ng’abadde atawanyizibwa ekirwadde kya pneumonia nga afiiridde mu Disitulikiti y’e Kabarole.
Wakati mu kungubaga, kkooti y’amaggye ekirizza Gen. Kayihura okwetaba mu kuziika nnyina.
Okusinzira ku muwandiisi wa kkooti y’amaggye Maj John Bizimana, “amaggye gakirizza Gen Kayihura okwetaba mu kuziika era tumusasidde nnyo olw’okufiira maama we”.
Kinnajjukirwa nti Kayihura alina emisango mu kkooti y’amaggye era bwe yali akkirizibwa okweyimirirwa, yaganibwa okusukka disitulikiti y’e Wakiso ne Kampala.