Minisita w’ebyobulamu Dr.Jane Ruth Aceng abikudde ekyama nti bannayuganda, tebagenda kubazza ku muggalo mu kiseera kino wabula okwongera okubasomesa n’okubajjukiza engeri y’okwetangira Covid-19.
Uganda mu kiseera kino erina abalwadde 2,362 nga yakafiisa abantu 22 ekyongedde okutiisa abakulu, abali mu ddimu ly’okulwanyisa obulwadde.
Essaawa yonna okuva kati, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni agenda kwogerako eri eggwanga, okwongera okulambika mu ngeri y’okwetangira obulwadde, obwongedde okusasaana.
Wabula Minisita Aceng agamba nti mu kiseera kino, kiraga nti bangi ku bannayuganda bakya omuggalo okusinga obulwadde.
Mungeri y’emu abikudde ekyama nti Minisitule y’ebyobulamu n’abakugu abali ku ddimu ly’okulwanyisa Covid-19, tebannaba kusalawo ku ky’okuzza bannansi ku muggalo wabula singa bannansi baneeyongera okuggyeema ku ky’okwambala masiki, okunaaba mu ngalo ate nga bakung’aana, tewali kulonzalonza wabula okubazza ku muggalo.
Mu Kampala, abakulembeze mulimu gwa Takisi ne bodaboda boongedde amaanyi, mu kusomesa abantu okwambala masiki nga bakikola, okwetangira okubazaayo ku muggalo.