Ssaabasajja Kabaka Ronald Edward Frederick Kimera Muwenda Mutebi II alaze okutya, olwa Gavumenti obutafaayo ku bantu abegumbulidde, okusanyawo obutonde bw’ensi nga tebakwatiddwako.
Maggulunnyondo agamba nti Uganda erina amateeka ag’enjawulo ssaako ne minisitule, evunaanyizibwa ku butonde bw’ensi, wabula amateeka gasukkiridde okwawulamu abaana ssaako n’ebyama.
Maasomoogi awadde Gavumenti amagezi, okwongera okutambuza amasanyalaze mu byalo, kiyambeko abantu okendeeza okusanyawo emiti, nga banoonya enku ez’okufumbisa, ekigenda okuyambako okendeza okusanyawo obutonde bw’ensi.
Ssaabasajja okuwanvuya ku ddoboozi, asinzidde mu Lubiri e Mmengo ku bikujjuko bya Buganda eby’ameefuga aga 58 ne mikolo gya Bulungibwansi.
Mungeri y’emu asekeredde, abeeyambisa emikutu migatta bantu okumubika, nti avudde mu bulamu bw’ensi eno.
Bbeene agamba nti akyaliwo nnyo era abatambuza ebigambo baswadde, ekiwade Obuganda essanyu.
Kabaka
Nga tugenda mu kulonda kwa 2021, Ssabataka awadde abantu be amagezi, okulonda abakulembeze bokka, abasobola okulakulanya abantu ba buligyo ssaako n’abo abasosowaza ensonga za Buganda.
Ate ku nsonga y’okulwanyisa omulabe Covid-19, Kabaka alabudde abantu bonna obutagayaala okutuusa ng’abakugu, basobodde okuzuula eddagala.
Ate katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga alopedde Omutanda, nti obutaba na buyinza y’emu ku nsonga lwaki n’abantu begumbulidde okusanyawo obutonde bw’ensi.
Mukuumaddamula agamba nti enkola ya federo, yokka yeesigadde okuzza Buganda ku ntikko, Buganda okwekolera ku nsonga zaayo.
Omukolo gwetabiddwako abantu abasaamusaamu omuli abakulembeze b’eddiini, abakiise ba Palamenti, Omuloodi Ssalongo Erias Lukwago n’abakulembeze abalala.