Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agobye abakuumi abamuweereddwa akakiiko k’ebyokulonda oluvanyuma lw’okusunsulwa, okuvuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda kwa 2021.

Kyagulanyi Ssentamu agamba nti oluvanyuma lw’okuwandiisibwa Poliisi yamukutte, okumutulugunya ssaako n’okutyoboola eddembe lye kyokka abakuumi abamuweereddwa, obwedda bakanula maaso nga balinga abali ku litimbe lwa ttiivi (TV).

Abakuumi ba Bobi Wine abagobeddwa
Abakuumi ba Bobi Wine abagobeddwa

Agamba nti bwe yabadde akwatibwa, tebaasobodde kumuyamba era okubasigaza tekikola makulu mu kiseera kino era bonna abagobye mu makaage e Magere.

Okusinzira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina ki NUP Lubongoya David, abakuumi baagobeddwa olw’okulemwa okutuukiriza omulimu gwabwe ku lunnaku olwasoose.

Okusalawo kwa Bobi Wine kulaga nti omukuumi we Eddy Ssebuwufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe akomyewo ku mulimu gw’okumukuuma mu kiseera kya Kampeyini kuba kirabika bamwesiga okusinga abasirikale ba Poliisi.

Eddoboozi lya Lubongoya