Omuwagizi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era akulembera ekkanisa ya Empowerment Christian Prayer Center International Pasita Franklin Mondo Mugisha awadde John Katumba omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino emmotoka, okumuyambako, okutambula eggwanga lyonna okunoonya akalulu.

Katumba myaka 24 agamba nti wadde yegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, talina mmotoka mu kutambuza Kampeyini ze era yabadde asuubiza okutambula, okulinya bodaboda oba Takisi ng’abasirikale be, abawereddwa emmotoka akakiiko k’ebyokulonda bamutambulirako.

Wabula Pasita Mondo agambye nti Katumba mutabani we mu Katonda era amuwadde emmotoka ekika super custom, okumuyambako mu Kampeyini ze.

Mungeri y’emu agambye nti emmotoka amuteereddemu amafuta agasobola okumuyambako okumutambuza ennaku, nga bw’atekateeka, okumunoonyeza emmotoka egwanidde omuntu yenna eyesimbyewo, ku bukulembeze bw’eggwanga.

Mu Kampeyini ezitandiise enkya ya leero, Katumba yesimbyewo ng’akabonero ka mmeeza era Kampeyini azitandikidde Nakasongola.

Okuwangula obukulembeze bw’eggwanga, alina okuwangula Mugisha Muntu from the Alliance for National Transformation-ANT, Robert Kyagulanyi Ssentamu -NUP, Patrick Oboi Amuriat-FDC, Nobert Mao owa DP.

Abalala abayinza okumulemesa entebe kuliko Henry Tumukunde, Willy Mayambala, Fred Mwesigye, Nancy Linda Kalembe, Joseph Kabuleta ssaako ne ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga liko Yoweri Kaguta Museveni.