Mathew Kanyamunyu, asindikiddwa mu kkomera okusibwa emyaka 5 n’omwezi gumu lwa kutta Kenneth Akena, eyali omulwanirizi w’eddembe ly’abaana.

Akena yattibwa nga 12, November, 2016 okumpi ne ku Shoprite e Lugogo.

Kigambibwa nti Akena yakolobola emmotoka ya Kanyamunyu mwe yali ne muganzi we Cynthia Munwangari era mu ngeri y’obusungu yaggyayo mmundu n’amukuba amasasi kyokka bwe yalaba ng’ali mu mbeera mbi agenda kufa n’amuddusa mu ddwaliro lya Norvick mu Kampala.

Omugenzi Akena ne Mathew Kanyamunyu
Omugenzi Akena ne Mathew Kanyamunyu

Akena wadde yali mu mbeera mbi bwe yali tanaffa ng’ali mu ddwaliro, kigambibwa yategeeza abasawo nti Kanyamunyu ye musajja amukubye amasasi.

Wabula Kanyamunyu akkirizza emisango gy’okutta Akena mu butanwa era mu nteseganya wakati we ne offiisi ya Ssaabawolereza wa Gavumenti mu kkooti enkulu mu Kampala wansi w’omulamuzi Stephen Mubiru, asibiddwa emyaka 5 n’omwezi gumu.

Munwangari, omugenzi Akena ne Mathew Kanyamunyu
Munwangari, omugenzi Akena ne Mathew Kanyamunyu

Kanyamunyu abadde avunaanibwa ne muganzi we Munwangari kyokka omulamuzi kabiite we amugyeko emisango gy’obutemu.