Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti akooye ebigambo by’abantu era asazeewo okweyambisa ebintu ebirabwako nti ddala musajja muwanguzi mu kisaawe ky’okuyimba.
Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi asinga okutunda Uganda mu nsi z’ebweru olwa Talenti y’okuyimba era y’emu ku nsonga lwaki Minisitule y’ebyobulambuzi yamuwadde obwa Ambasadda w’ebyobulambuzi mu Uganda.

Wadde bangi ku bannayuganda balina ezzalawo ku Kenzo, kati ye ssaawa okukkiriza nti ddala Katonda yamuggulirawo enzigi.

Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ezimu ku ‘Award’ ezisukka 20 zeyakawangula okuva mu miziki gye emyaka egisukka 10.

Kenzo alaze lwaki mu Africa ye Mandela omuto okusinzira ku ‘Award’ ze era agambye nti, “All of em for Young mandela“.

Mu Uganda, Kenzo ye muyimbi yekka alina ‘Award’ ya ‘BET’ era ye muyimbi asinga ‘Award’ z’ebweru nga ne Uganda mu myaka egisukka mu 10 ng’ali mu kisaawe ky’okuyimba y’omu ku bayimbi abakyasinze okuwangula ‘Award’.