Poliisi y’e Kayunga ekutte taata ku misango gy’okutta muwala we oluvanyuma lw’okumusobyako.

Taata ategerekeseeko erya Kaziro nga mutuuze ku kyalo Busaana yakwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Kaziro ali ku misango gy’okutta muwala we Maria Tereeza Ziyadi myaka 11, omulambo gwe nagusuula mu ssamba lye bikajjo ku kyalo kye Kasaana.

Enanga agamba nti omwana oluvanyuma lw’okuttibwa, ebitundu by’ekyama byasaliddwako.

Taata Kaziro akwattiddwa, ayambeko ku Poliisi mu kunoonyereza ku bigambibwa nti yabadde mu lukwe lw’okutta omwana we.