Munnamawulire Mr Henry tali mu mbeera nnungi era mu kiseera kino anoonya mukyala omulungi ayinza okumukakanya mu birowoozo.
Kigambibwa Mr Henry omuwereza wa Pulogulamu Mid Morning Tukoone ku 100.2 Galaxy FM ali mu laavu ne Prima Kardashi eyali mukyala w’omuyimbi Geosteady.
Okusinzira ku kigatto waffe, Mr Henry yafunye obutakaanya ne Prima olw’akaboozi.
Mr Henry musajja ategeera ensonga z’omukwano era ayagala nnyo okunyumya akaboozi n’omukyala yenna okutuuka ku ntikko kyokka Prima wadde naye mukyala ategeera ensonga z’omu kisenge, akoowa nnyo kuba alina emirimu egy’enjawulo.
Prima y’omu ku bakyala abakozi era olw’okunoonya ssente, kigambibwa alemeddwa okuwa Mr. Henry obudde bw’omu kisenge, ekintu ekiyinza okubawula.
Mr. Henry mu kiseera kino alina ennyonta y’omukwano kyokka Prima alemeddwa okumuwa essanyu.