Poliisi ekutte ssemaka Samuel Atiku ku misango gy’okutta omwana we myezi 3 mu disitulikiti y’e Arua olw’obutakaanya ku nsonga z’omu kisenge ne mukyala we Melica Okunduyu.

Kigambibwa Ssemaka Atiku ne kabiite we Melica baludde nga balina obutakaanya wakati waabwe nga n’omukyala yagaana bba, okuddamu okusembeza omukono ku ssemateeka.

Wabula mu kkiro ku ssaawa nga 10, Atiku yasembeza omukono mu ngeri y’okwetonda okuddamu okusinda omukwano olw’ennyonta y’akaboozi, omukyala nabigaana.

Olw’obusungu n’okuswala, Ssemaka Atiku yavudde mu mbeera era wakati mu kulwanagana n’omukyala ku buliri, yabadde agezaako okuba omukyala ekikonde mu lubuto ekyembi, ekikonde kyakuttemu omwana ku mutwe era yafiiriddewo.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Atiku akwattiddwa ku misango gy’okutta omwana we, ayambeko Poliisi mu kunoonyereza.