Omuzinnyi Arthur the Vaccine awadde abantu enseko bw’alaze nti alina omukwano era essaawa yonna agenda kulaga ensi omukyala gw’alina okuzaalamu abaana.

Arthur the Vaccine akola ku 100.2 Galaxy FM mu Pulogulamu ya Night Breeze era musajja mukugu mu nsonga z’omukwano ekimufudde omusajja ow’enjawulo.

Ng’omuntu omulala yenna, ku wikendi yabadde ne mikwano gye ku Motoola Beach mu disitulikiti y’e Mukono era mu ngeri y’okulaga nti musajja ategeera ensonga z’omukwano, yasobodde okweyambisa omukisa ogwo, okusomesa banne engeri gye bayinza okusaba abakyala obufumbo.

Arthur the Vaccine yafukamidde okulaga banne engeri gye bayinza okweyisa mu nsonga z’okusaba obufumbo wakati mu kusakaanya.

Wabula wadde byabadde byakusaaga, abamu ku mikwano gya Arthur baagambye nti, ‘bambi omuwala agudde mu laavu ate kalabika kategeera ensonga z’omu kisenge singa kafuna omusajja alina ensolima ya waaya nga Arthur n’ogikakuba mu busonda bwa waaya bwonna’.

Vidiyo!