Poliisi eyongedde okufuna obujjulizi ku musajja Alfa Musoke eyakwattiddwa ku misango gy’okufera abantu mu linnya lya Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba, mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.

Musoke yakwattiddwa sabiti ewedde, nga yakafera abantu abasukka mu 60 obukadde obusukka mu 100, emmotoka 2 ng’abasuubiza okubatwala mu America ne Bungereza okufuna emirimu, ng’omusaala guli mu bukadde bwa ssente ng’asinzira mu kkampuni ye ‘Holyn Care Company’.

Alfa Musoke ku kitebe kya CID e Kibuli
Alfa Musoke ku kitebe kya CID e Kibuli

Joshua Sserwanga, omu ku bali maziga mu kiseera kino, agamba nti yawa Musoke ssente obukadde 10 ng’amusuubiza okumuyamba okuva Saudi Arabia okumutwala mu ggwanga erya America, okufuna omulimu oguyingiza obukadde kyokka oluvanyuma lw’okufuna ssente, amassimu gonna yagajjako.

Mungeri y’emu agambye nti ku Poliisi ya Kampala Mukadde, Musoke alina emisango egisukka 20 kyokka n’abasirikale bakya okumukwata.

Wabula omwogezi wa Poliisi ya bambega Charles Twine agambye nti Musoke yaguddwako emisango 4 omuli okufera abantu, okufuna ssente mu lukujukuju, okweyita kyatali n’okutekateeka okukusa abantu mu ngeri emenya amateeka.

Mungeri y’emu agambye nti Musoke muntu wa buligyo wabula okufera abantu abadde yasalawo okweyambisa amannya g’abantu abanene n’okusingira ddala erya Muhoozi.

Eddoboozi lya Twine