Kyaddaki Poliisi efulumizza ‘List’ y’abantu abattiddwa olunnaku olw’eggulo mu Kampala mu kwekalakaasa.

Abantu baavudde mu mbeera nga bawakanya ekya Poliisi okukwata Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) mu disitulikiti y’e Luuka ne bamulemesa okukuba Kampeyini ze, okusaba akalulu k’obwa Pulezidenti era ne bamutwala ku Poliisi y’e Nalufenya.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abattiddwa kuliko Mwanje Sandi myaka 35 ng’abadde mutuuze we Katwe, Juma Sendagire, 27 okuva e Lusanja Kitezi ne Amasi okuva ku bbiri era emirambo gyabwe  gyatwaliddwa mu ggwanika mu ddwaaliro e Mulago okwekebejjebwa.

Enanga mu ngeri y’emu agamgye nti abantu 34 bebaafunye ebisago era bonna bali mu ddwaaliro e Mulago okufuna obujanjabi.

Ku bantu abattiddwa, Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko okufa kwabwe.

Eddoboozi lya Enanga