Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) aguddwako emisango emikambwe era essaawa yonna bayinza okumutwala mu kkooti.
Bobi Wine yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo bwe yabadde akubye olukungana ku kitebe kya disitulikiti y’e Luuka era yatwaliddwa ku Poliisi y’e Nalufenya gye yasuze.
Kigambibwa Bobi Wine yabadde aggyemedde ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda eby’okutangira Covid-19 okusasaana nga yabadde alina abantu abasukka mu 200.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti Bobi Wine aguddwako emisango omuli okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya obulwadde bwa Covid-19, okukuma mu bantu omuliro n’okukuba enkungana ezimenya amateeka.
Bobi Wine yakwattiddwa ne Pasita Muwanguzi Andrew era bonna mu kiseera kino bali ku Poliisi y’e Nalufenya.
Enkya ya leero ne Ssegirinya Muhammad akwattiddwa okumpi ne Poliisi y’e Nalufenya era atwaliddwa mu kifo ekitamanyiddwa.
Eddoboozi lya Enanga