Aba bodaboda 3 battiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo mu disitulikiti y’e Wakiso ne Butambala mu kwekalakaasa ng’abantu bawakanya ekya Poliisi okusiba Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine).

Abattiddwa kuliko Fred Sentamu Junior ne Robert Lukwago e Nansana era kigambibwa battiddwa aba LDU ku luguudo oludda e Nabweru.

Omuntu ow’okusatu ategerekeseeko erya Faizal ng’abadde mutuuze mu katawuni k’e Kyabadaaza mu disitulikiti y’e Butambala.

Okusinzira ku Richard Lujja, ssentebe w’ekyalo Nansana East II B, aba boda abattiddwa mu kitundu kye, teebabadde mu kwekalakaasa era asigadde yewuunya omutindo gw’ebitongole ebikuuma ddembe omuli n’abakuumi ba LDU ate abazzeemu okutta abantu.

Fred Sentamu Senior taata w'omugenzi Fred Sentamu Junior
Fred Sentamu Senior taata w’omugenzi Fred Sentamu Junior

Ate taata w’omugenzi Fred Sentamu Junior, Fred Sentamu Senior wakati mu kulukusa amaziga agamba nti mutabani we yabadde ku mirimu gye ne mukwano gwe era owa LDU okubatta, Poliisi eteekeddwa okunoonyereza.

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Katonga, Lydia Tumushabe agambye nti omulambo gwa Sentamu ne Lukwago gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa ate ogwa  Faizal gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Gombe.

Mungeri y’emu asabye abantu okukomya okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka omuli okwekalakaasa.