Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye byongedde okuteevuunya nga munyeera mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo n’okusingira ddala mu katale ewa Kisekka okutangira embeera okusajjuka.

Abasuubuzi abakolera ku nguudo okuli Kyaggwe, Martin, Nakivubo, Namirembe, Nasser, Nkurumah ne Agha Khan bavudde mu mbeera nga basaba Poliisi okubanyonyola lwaki enguudo ezimu ezituuka ku maduuka gaabwe ziggaddwa.

Olw’obusungu, abasuubuzi abamu abatandiise okwokya ebipiira wakati mu luguudo era Poliisi ewaliriziddwa okweyambisa ttiiyagaasi n’amasasi mu bbanga okubagumbulula.

Wabula ku luguudo lwe Nakivubo waliwo abakyala abasukka mu 10 abatabukidde Poliisi olw’okukuba ttiiyagaasi.
Abakyala bagambye nti bamalaaya nti balina okunoonya 100 okwebezaawo kyokka Poliisi ebalemesezza okukola olw’abasajja okudduka.
Omu ku bakyala agambye nti, “nze Winnie, tukooye Poliisi okutulemesa mujje tubaweeko kuba kirabika mulina obusugu, yiino nkuwadde ku bwereere”.

Olw’embeera ebadde mu Kampala, abasuubuzi abamu bagadde amaduuka gaabwe era omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agambye nti abasirikale balina okusigala nga balawuna okutuusa embeera ezze mu nteeko.