Gavumenti erabudde bannayuganda okuggya omuzannyo mu kuzannyiza ebitongole ebikuuma ddembe ssaako n’okuteekawo embeera, eyinza okuviraako abantu okuttibwa.

Okusinzira ku Minisita w’obutebenkevu Gen. Elly Tumwine, tewali muntu yenna ali waggulu w’amateeka era bannayuganda abeekalakaasiza olw’okusiba Robert Kyagulanyi Ssentamu newankubadde yesimbyewo, ku bukulembeze bw’eggwanga lino, si yasoose okusibwa.

Gen. Tumwine alabudde abantu bonna abasuubirwa okwenyigira mu kutwalira amateeka mu ngalo, nti Gavumenti tegenda kubattira ku liiso.

Mungeri y’emu asiimye ebitongole ebikuuma ddembe, omulimu gwebaakoze okutebeenkeza ebyokwerinda newankubadde waliwo abattiddwa ssaako n’okuyiga ebiwundu.

Minisita Tumwine akangudde ku ddoboozi okulabula, abantu abasuubira okuddamu okulumba ebitoongole ebikuuma ddembe.

Agamba nti buli musirikale waddembe okutta omuntu yenna mu ngeri y’okwetaasa singa omuntu yenna agezaako okumulumbagana.

Mini Tumwine