Omuwendo gw’abantu abaakafa nga kivudde ku bantu okwekalakaasa nga bawakanya ekya Poliisi okusiba Robert Kyagulanyi Ssentamu gweyongedde nga kiva ku bantu balina ebisago, okweyongera okufa.

Ku ddwaaliro ekkulu e Mulago, abaakafa baweze 37 ng’emirambo 6 gibuliddwako ab’enganda.

Okusinzira ku Dr. Moses Byaruhanga akulira ebyobulamu n’obujanjabi mu kitongole kya Poliisi, ku bantu abaakafa kuliko abasajja 33 n’abakyala 4 ate emirambo egibuliddwako ab’enganda kuliko abasajja 4 n’abakyala 2.

Mungeri y’emu agambye nti bangi ku bafudde n’abanyiga ebiwundu kivudde ku masasi agaabakubwa, abamu baafuna akabenje wakati mu dduka embeera ssaako n’okubalinya nga bali mu kanyigo mu ngeri y’okwetaasa.

Ate bo abatuuze b’e Nkumba mu Tawuni Kanso y’e Katabi mu disitulikiti y’e Wakiso, bali maziga nga bagamba nti Poliisi yasse omuntu waabwe Alex Mugasha myaka 30 ku ssaawa nga 2 ez’ekiro, ekikesezza olwaleero.

Abatuuze bagamba nti Mugasha, teyabadde mu kwekalakaasa mu kubanja okuyimbula Kyagulanyi wabula yabadde afulumyemu okunoonya eky’okulya ne bamukuba amasasi wakati nga Poliisi n’amaggye egumbulula abekalakaasa mu bitundu bye Kisembi Cell e Nkumba.

Omulambo gwa Mugasha gusangiddwa abatuuze enkya ya leero ebbali w’ekkubo era amangu ddala Poliisi eyitiddwa, omulambo ne gutwalibwa ku ddwaaliro ekkulu e Mulago.

Abatuuze, balabudde Poliisi okweddako mu kweyambisa obusungu.

Ku nsonga ezo, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku by’okutta Mugasha n’engeri gye yattiddwamu.