Minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti Ester Mbayo agamba nti okusindika abasirikale ku nguudo nga bali mu ngoye ez’abuligyo ate nga bakutte emmundu y’emu ku nsonga lwaki baasobodde okuteebenkeza ebyokwerinda wakati ng’abantu bekalakaasa okusaba Poliisi okuyimbula Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) sabiti ewedde ku Lwokusatu.

Bobi Wine baamukwattira mu disitulikiti y’e Luuka okuva ku laale ku bigambibwa nti yali agyemedde ebiragiro by’akakiiko k’ebyokulonda eby’okulwanyisa Covid-19 ng’ali abantu abasukka 200 era oluvanyuma lw’okutwalibwa ku Poliisi y’e Nalufenya, abantu mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okusingira ddala mu Kampala, kwekutandiika okwekalakaasa, okwaleka abantu abasukka 40 nga battiddwa.

Ester Mbayo
Ester Mbayo

Minisita Mbayo, agamba nti abekalakaasi baava ku mulamwa ne badda mu kutwalira amateeka mu ngalo omuli okulumba ebitongole ebikuuma ddembe, okwenyigira mu kubba, effujjo nga balina okweyambisa obukodyo obw’enjawulo, okutebenkeza embeera.

Minisita agamba nti baasobodde okweyambisa abasirikale okubasindika mu bantu nga bali mu ngoye eza buligyo okunoonya abakozi b’effujjo ssaako n’okweyambisa emmotoka z’olukale okwefuula abanoonya abasaabaze, okusobola okukwata abaali basudde emisanvu mu kkubo okugyeyambisa okunyaga abantu.

Minisita Mbayo asinzidde Masaka mu ttabamiruka w’aba RDC, abasirikale mu kitongole ekikesi ekya DISO, bassentebe ba NRM mu greater Masaka okulambikibwa ku nsonga ez’enjawulo.

Eddoboozi lya Mbayo

Mungeri y’emu asabye abantu bonna abesimbyewo ku bukulembeze obw’enjawulo okulembeze emirembe n’okutambuza Kampeyini nga bali mateeka wakati mu kulwanyisa Covid-19 olw’okutangira abantu okufa.