Poliisi mu ggwanga erya Nigeria mu kibuga Lagos ekutte abantu 3 ku misango gy’okubba abantu nga beyambisa emitimbagano.

Abakwattiddwa, baludde nga bayanga ebitongole by’obwanannyini ne Gavumenti okuva mu nsi ezisukka mu 150 era bakwattiddwa Poliisi y’e Nigeria nga yegattiddwako Poliisi y’ensi yonna mu Nigeria.

Poliisi egamba nti yakafuna abantu emitwalo 5, abavuddeyo okulumiza abakwattiddwa ku misango gy’obunyazi.

Mu Nigeria, okubba abantu nga beyambisa emitimbagano kweyongedde era bangi ku bannansi bali maziga.