Willy Mayambala omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino awanjagidde ekitongole  ekivunanyizibwa ku bungi bw’abantu mu ggwanga ekya NIRA okumuwa enamba z’amassimu eza bannayuganda bonna, okuzeyambisa mu kunoonya akalulu.

Mayambala nga yesimbyewo nga yindipendenti agamba nti essimu, agenda kuzeyambisa okuba Kampeyini ng’asindikira abantu mesegi, okusaba akalulu.

Mungeri y’emu agambye nti okusindikira abantu mesegi, kigenda kuyambako n’okutangira okungaanya abantu, ekiyinza okutambuza Covid-19.

Mayambala era agamba nti olw’okusoomozebwa kwagaanye okwatuukiriza, tasobola kutambula ggwanga lyonna okwongera okusaba abantu akalulu.

Eddoboozi lya Mayambala

Wabula omwogezi w’ekitongole ekya NIRA Gilbert Kadilo, agambye nti tebasobola kuwa muntu yenna essimu z’abantu wadde bazirina.

Kadilo agamba nti bo nga ekitongole bateekeddwa okukuuma ebiwandiiko by’abantu.