Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssenyamu (Bobi Wine) yegasse ku Dr. Kizza Besigye eyali Pulezidenti w’ekibiina ki FDC okusaza amaggye ga Uganda okwenyigira mu bikolwa ebimenya amateeka.
Besigye asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza nti waliwo emmotoka ya Poliisi emuyiseeko nga kuliko bannamaggye nga bayambadde ebikofiira ku mitwe okukweka ffeesi zaabwe.
Dr. Besigye asigadde yebuuza lwaki amaggye gatambulira ku kabangali ya Poliisi ye lwaki bakweka ffeesi zaabwe?.
Wabula Bobi Wine naye asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter okugamba nti bangi ku bannamaggye byabakola tebabimanyi wabula Mukama Katonda abasonyiwe.