Bya Zainab Ali
Ku bigenda maaso mu ggwanga omuli okusika omuguwa wakati w’ebitongole ebikuuma ddembe mu kuteekesa mu nkola ebiragiro by’okulwanyisa Covid-19 ssaako n’abo abesimbyewo abali mu kunoonya akalulu, ab’ekibiina kyobwannakyewa ekirondoola eby’okulonda mu ggwanga, ekya Citizens Coalition for Electoral Democracy Uganda – CCEDU bagamba nti kivudde ku mputtu ya Gavumenti.
Aba CCEDU nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe Dr. Miria Matembe bagamba nti Gavumenti okulemwa okwongezaayo okulonda nekkiriza Kampeyini wakati mu kulwanyisa Covid, y’emu ku nsonga lwaki okusika omuguwa kweyongedde.
Matembe eyali Minisita w’empisa n’obuntu bulamu mu kwogerako eri bannamawulire ku Rwizi Hotel e Kansanga, awanjagidde abakulu abali mu Gavumenti okwongera okusomesa abantu engeri y’okwewala Covid-19 okusinga okutyoboola eddembe ly’abantu abesimbyewo.
Matembe one
Ate ye akulira ekibiina kya CCEDU Charity Ahimbisibwe, agamba nti ttiiyagaasi asukkiridde, ekiremesa abantu abesimbyewo okutegeeza abalonzi Manifesito zaabwe ssaako n’abalonzi okulemwa okutegeera omuntu omutuufu, agwanidde okubakulembera.