Ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi, kisambaze ebyogerwa nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande Resident District Commissioners (RDC) we Mukono Fred Bamwine, yeefudde omudduumizi wa Poliisi, okulemesa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuba Kampeyini ze mu disitulikiti y’e Mukono.

Aba National Unity Platform (NUP) bagamba nti omusirikale, wadde yabadde ayambadde ekikofiira ku mutwe ssaako ne Masiki ne ku yunifoomu ya Poliisi yeeyita Asiimwe, tewali kubusabuusa kwonna yabadde RDC Bamwine okudduumira okubakolako effujjo.

Okusinzira ku mwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, olunnaku olw’eggulo waliwo abantu abattiddwa, abaafunye ebisago, bangi baasibiddwa mu disitulikiti y’e Mukono ku biragiro bya RDC Bamwine eyabadde yeefudde omusirikale.

Ssenyonyi mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya NUP e Kamwokya, agambye nti ebikolebwa, byongedde kubongera maanyi okubanja enkyukakyuka mu ggwanga.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango agambye nti Omusirikale, eyakulembeddemu okudduumira, omusirikale waabwe okuva mu disitulikiti y’e Mbarara.

Onyango agamba nti Omusirikale ASP Asiimwe yeeyakoze omulimu omulungi wabula teyabadde RDC Bamwine.

Onyango ku Bamwine