Minisita omubeezi ow’abakadde n’abantu abaliko obulemu Sarah Kanyike alabudde abakyala okusitukiramu, okwenyigira mu kweyambisa tekinologiya, ayongedde mu kusensera omulembe guno mu kutambuza emirimu.

Minisita Kanyike agamba nti wadde abakyala bakozeewo ku ssente ssaako n’okuyitimuka mu ngeri y’okutandikawo emirimu, singa balemwa okwenyigira mu bya tekinologiya, boolekedde okusigala emabega.

Abalabudde okweyambisa amassimu okubaako kye bakyusa mu kutambuza obulamu.

Ate ye omuyimbi Stecia Mayanja awadde abakazi amagezi okukomya okusabiriza buli kamu abasajja, kubanga olumu bakoowa okubasabiriza buli kantu.

Abalabudde okuba abayiiya nga bayita mu kutandikawo emirimu egiyinza okuyingiza akasente.

Stecia ku bakyala

Minisita Kanyike ne Stecia okubyogera basinzidde ku Serena Hotel mu Kampala mu kutoongoza Platform emanyiddwa nga ‘50 Million African Women Speak Networking’ egendereddamu okugatta abakyala abaliko kye bakola, okugabana amagezi n’okunoonya obutale ku bintu ebikolebwa.