Ekiyongobero kibuutikidde ekitongole kya Poliisi mu Kampala, Omusirikale ASP Gloria Nakiboneka bw’asangiddwa ng’afiiridde mu nnyumba.

Nakiboneka yabadde akulira offiisi ekwasaganya ensonga z’amaka ne famire ku Poliisi y’e Kabalagala  era asangiddwa ng’afiiridde mu nnyumba ye e Kitemu, mw’abadde asula n’omwana we myezi 6 ssaako n’omukozi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Afande Patrick Onyango, Nakiboneka okuva sabiti ewedde ku Lwokutaano abadde tali mu mbeera nungi era omulambo gwe, gusindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Onyango agamba nti Nakiboneka yegatta ku kitongole kya Poliisi mu 2014 era afiiridde ku myaka 34.