Poliisi mu Kampala eri mu kunoonya ababbi abaasimye ekisenge ne batwala obukadde bwa ssente okuva ku ttabi erikola ku bya ssente erya City Forex Bureau.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, ‘Forex’ eyabiddwa esangibwa ku kizimbe Titanic ku luguudo lwa Johnson mu Kampala wakati era ababbi batutte obukadde bwa ssente 220.

Onyango agamba nti ababbi, baasobodde okupangisa ekifo okumpi ne ‘Forex’ era ekiro, baasobodde okusima ekisenge nga beeyambisa ebyuma ne batwala ensimbi.

Mu kiseera kino Poliisi eyuungudde basajja baayo okuyigga bakkondo era okunoonyereza okuliwo kulaga nti ababbi baludde nga betegereza embeera y’ekifo.