Akwattidde ekibiina kya NUP bendera ku bukulembeze bw’eggwanga lino Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ayimirizza Kampeyini ze nga kivudde ku bitongole ebikuuma ddembe okumulemesa okutambuza Kampeyini obulungi.
Kyagulanyi okuyimiriza Kampeyini ze, kidiridde okumulemesa okuba Kampeyini olunnaku olwaleero era kabuze kata okumutta, emmotoka ye mwatambulira. bwekubiddwa amasasi emipiira gyombi gy’omumaaso ssaako n’endabirwamu y’omu maaso okumpi n’omutto gwa ddereeva, omubaka wa Monisipaali y’e Mityana Francis Zaake wabadde attudde era asigadde awuunze.

Agamba nti Poliisi yamulemeseza okuba Kampeyini mu disitulikiti y’e Kayunga era mu katawuni k’e Kyampisi, abantu be baakoseddwa omuli n’omu ku basirikale be, abamuweebwa akakiiko k’ebyokulonda ku nsonga y’ebyokwerinda.

Ate mu disitulikiti y’e Jinja, ttiiyagaasi akubiddwa n’amasasi, okutuusa emmotoka ye bwekubiddwa ng’emu ku ngeri y’okumuyimiriza okuba Kampeyini.
Agamba nti olunnaku olw’enkya, wakubitekamu engatto okwolekera akakiiko k’ebyokulonda, okumutegeeza omulimu gwabwe mu kulonda okubindabinda okusinga ebitongole ebikuuma ddembe okumulemesa.

Poliisi okuba emmotoka amasasi, Kyagulanyi abadde agezaako okuyita ebbali ku misanvu gya Poliisi egiteekeddwa mu kkubo.
Bobi Wine Kampeyini