Abantu abatamanyiddwa, balumbye ekisenge ky’akakiiko k’ebyokulonda ku Jinja Road ne batimba ebipande ebikadde nga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ali mu kunywa njaga.
Ebipande ebisukka 50 nga biri mu kkala nzirugavu, kuwandikiddwako ebigambo, eby’enjawulo omuli, “baaba tukikube nga tuyingira State House” wakati nga Kyagulanyi akutte omusokoto gw’enjaga ali mu kunywa.
Tekimanyiddwa, ani yakoze obulimu gw’okutimba ebipande wakati nga Kyagulanyi ayimiriza Kampeyini ze, okulumba akakiiko k’ebyokulonda okumutegeeza omuntu omutuufu akulembeddemu okulonda kwa 2021.

Kyagulanyi agamba nti Poliisi n’amaggye okumulemesa okuba Kampeyini ze omuli n’okutta abantu be, ssentebbe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi omutendeke Simon Byabakama abadde alina okuvaayo okulaga wayimiridde ku ffujjo, eribakolebwako wakati mu kuwenja akalulu.
Ensisinkano wakati wa Kyagulanyi n’akakiiko k’ebyokulonda ekyagenda mu maaso mu kiseera kino.
Ku ludda lwa NUP, Kyagulanyi awerekeddwako omwogezi w’ekibiina Joel Ssenyonyi, Nagayi Nabirah omu ku besimbyewo ku bwa Loodi meeya bwa Kampala n’abalala.