Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’egwanga lino Yoweri Kaguta Museveni ayambalidde Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okwefuula omulungi nti afaayo ku nsonga z’abavubuka ate ng’ebbanga ly’akulungudde ng’ali mu Palamenti, alemeddwa okubaako ensonga gyaggusa.

Museveni agamba nti Kyagulanyi ne banne okuva ku ludda oluvuganya, balemeddwa okweyambisa omukisa nga bali mu Palamenti okola ku nsonga z’abavubuka ne badda mu kulimbalimba n’okusiiga obukulembeze bwe ensiro.

Museveni bw’abadde asisinkanyeko abakulembera abavubuka mu bitundu bye Bukedi okuva mu disitulikiti omuli Budaka, Busia, Butaleja, Butebo, Kibuku, Tororo ne Pallisa mu komekereza okunoonya akalulu mu kitundu ekyo, agambye nti abakulembeze nga Kyagulanyi mu Palamenti bakoze ku nsonga zakweyongeza misaala, ensonga eziruma abantu n’okusingira abavubuka ne bazimulekera.

Kinnajjukirwa nti Kyagulanyi yalondebwa okukiika mu Palamenti y’eggwanga mu 2017 wabula Museveni agamba nti, ebbanga lyakulungudde mu Palamenti talina kyakozeewo ne banne.

Museveni one