Poliisi mu Kampala erabudde Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okutambulira mu mateeka bw’aba agenda ku kakiiko k’ebyokulonda enkya ya leero.
Kyagulanyi agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe bisukkiridde okumulemesa okuba Kampeyini ze nga n’olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri, emmotoka ye yakubiddwa amasasi bwe yabadde agenda e Jinja okwongera okunoonya akalulu ku bwa Pulezidenti mu kulonda kwa 2021.
Agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kalina okumutegeeza ani akulira ebyokulonda mu kiseera kino okusinga Poliisi n’amaggye okumulemesa okuba kampeyini ze era y’emu ku nsonga emutwala mu kakiiko k’ebyokulonda enkya ya leero.

Wabula omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti Kyagulanyi alina okwewala okugenda ku kakiiko n’abantu abangi ssaako n’oluseregende lw’emmotoka kuba kigenda kutaataganya emirimu gy’abantu mu Kampala era Poliisi tegenda kukikkiriza.

Mu kiseera kino mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo, abasirikale bayiriddwa okwetoloola ekibuga n’okusingira ddala ku Jinja Road okumpi ne offiisi z’akakiiko k’ebyokulonda okwongera okunyweza ebyokwerinda.
Kyagulanyi asuubirwa ku kakiiko ku ssaawa 5 ez’okumakya.
Ekifaananyi kya Daily Monitor