Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC akulembeddemu ekibiina ku bukulembeze bw’eggwanga lino Patrick Amuriat Oboi ayimbuddwa, kakalu ka kkooti akawungeezi ka leero.
Amuriat abadde ku misango gy’okugyemera ebirabiro era akwattiddwa enkya ya leero bw’abadde agenda okunoonya akalulu mu disitulikiti y’e Rubirizi.
Bw’asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti esookerwako Mbarara Gordon Muhimbise, Amuriat yegaanye emisango gyonna era ng’ayita mu bannamateeka be nga bakulembeddwamu Lydia Ahimbisibwe asabye okweyimirirwa.
Omulamuzi akkiriza okusaba kwe, era amuyimbudde ku miriyoni 2 ezitali za buliwo ssaako n’abantu abamweyimiridde 2 miriyoni 2 buli omu ezitali za buliwo.
Omulamuzi ayongezaayo omusango okutuusa nga 18, Ogwokubiri, 2021.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, ku lunnaku Olwokusatu nga 2 omwezi guno ogwa December, Amuriat yenyigira mu ddukaduka ne Poliisi mu kibuga kye Mbarara bwe yali aganiddwa okuyingira ekibuga okuba Kampeyini ze nga kiyinza okutataaganya emirimu gy’abasuubuzi.
Wabula Amuriat yasalawo okweyambisa bodaboda okuyingira ekibuga era wakati mu kuwanyisiganya ebigambo ne Poliisi, owa bodaboda yatomera adduumira Poliisi y’e Mbarara John Rutagira mu bugenderevu.