Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago awanjagidde Gavumenti okwongera ensimbi mu kutumbula ebyobulamu mu ggwanga.

Lukwago, akomyewo enkya ya leero okuva mu ggwanga erya Kenya mu kibuga Nairobi, oluvanyuma lw’okutwalibwa mu malwaliro okuli erya Aga Khan ne Nairobi Hospital gy’akulungudde sabiti ezigenda mu 2.

Bw’abadde ayogerako eri bannamawulire mu makaage e Wakaliga, Lukwago agambye nti baagenda okumutwala mu ggwanga erya Kenya, embeera yali eyongedde okubiggya.

Agamba nti yasooka kufuna alagye ne bamutwala mu ddwaaliro e Rubaga era gye bamuggya okumutwala e Kenya nga n’okussa takyasobola.

Mungeri y’emu agambye nti mu ggwanga erya Kenya, abasawo bazudde nti ebinywa ku mawuggwe byongedde okunafuwa ne misuwa egitambuza omusaayi ku mawuggwe giri mu mbeera y’emu.

Lukwago agamba nti embeera gye yalimu, yali esobola okuvaako omusaayi okwetugga.

Lukwago Birwadde

Lukwago olw’embeera gye yabaddemu n’okumutuusa mu ggwanga erya Kenya, awanjagidde Gavumenti okwongera okutumbula ebyobulamu, kiyambeko bannayuganda okufuna obujanjabi.

Agamba nti singa embeera ye, yasangirizza omuntu nga teyesobola mu by’ensimbi, singa kati z’embuyaga ezikunta.

Olw’embeera gy’alimu, Lukwago aqyimiriza okunoonya akalulu okusobola okutaasa obulamu n’okuteeka mu nkola ebiragiro by’abasawo.