Poliisi mu Kampala eri mu kunoonya abatuuze, abatwalidde amateeka mu ngalo ne batta omubbi, omu ku bakkondo abaludde nga banoonyezebwa.
Omubbi Ssebuliba Kassim y’omu ku bakkondo abaludde nga beyambisa amajjambiya okutigomya abatuuze mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo, yeyattiddwa bwe yabadde agenze okubba Luwafu mu Divizoni y’e Makindye.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Ssebuliba yabadde ne banne abasukka mu 3 nga bagenze okubba omukyala Prossy Namubiru kyokka abatuuze olw’akubye enduulu, Ssebuliba yakubiddwa abatuuze ate banne baasobodde okuduuka.
Enanga agamba nti Ssebuliba yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro era Poliisi, etandiise okunoonya abatuuze ku misango gy’okutwalira amateeka mu ngalo ssaako n’okunoonya bakkondo abaasobodde okuduuka.
Enanga One Final