Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu bitundu bye Ghana ebyenjawulo olwa bannansi abakedde okulonda omukulembeze w’eggwanga n’abakiise ba Palamenti 275.

Omukulembeze ali mu ntebe Nana Akufo Addo myaka 76 asaba kisanja kyakubiri kyokka n’eyali omukulembeze w’eggwanga eryo John Mahama wakati wa 2012 ne 2017 naye azzeemu okusaba entebe.

Okulonda kwa leero kwa mulundi gwa munaana (8) bukya Ghana ekomyewo enkola y’ebibiina 1992.

Okulonda kutandiise mirembe era abalonzi abali mu bukadde 17 bebewandiisa okulonda.

Abalonzi bajjumbidde okwambala masiki nga bagenda okulonda ssaako n’okudda awaka oluvanyuma lw’okulonda nga bwe kyalagiddwa akakiiko k’ebyokulonda.

Ghana yakafuna abakulembeze 5 okuva mu 1992 nga 3 bawaddeyo obuyinza mirembe ekyongedde okulaga nti dimokulasiya yeyongedde mu ggwanga eryo.