Poliisi y’e Kira mu disitulikiti y’e Wakiso eriko yaaya gw’ekutte n’eggalira nga kigambibwa asangiddwa lubona nga anywesa omwana wa mukamawe omusulo ku kyalo Namugongo mu ggoombolola ye Namugongo.
Yaaya Vicky Abiria ali mu gy’obukulu 30 yakwattiddwa oluvanyuma lw’okuleetebwa mukama we Hope Nnaalongo, okulabirira abaana be babiri (2)
Abira asangiddwa enkya ya leero ng’omusulo agutadde mu ccupa omwana mwanywera ccaayi, yakamala okuwa abaana.
Nnalongo agamba nti Abira abadde yakamuleeta okulabirira abaana era abadde akola bulungi nnyo emirimu gye kyokka yeewunyizza okudda ku baana be okubanywesa omusulo.

Abira awonye okukubwa abatuuze oluvanyuma lw’okusangibwa ng’awa abaana omusulo era abadde agaanye okuvaamu ekigambo kyonna.
Nnalongo asobodde okuyita Poliisi era abasirikale webatuuse, akkiriza nti ddala abaana abadde abawa musulo.
Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, agambye nti Abira akwattiddwa ayambeko Poliisi mu kunoonyereza era omusulo gusindikiddwa mu kyuma e Wandegeya ogwekebejja.
Mungeri y’emu agambye nti omu ku baana akebeddwa ng’alina obuwuka mu mubiri nga kigambibwa kivudde ku musulo wabula abasawo batandikiddewo okumuwa obujanjabi.
Eddoboozi lya Onyango