Ssaabalamuzi w’eggwanga erya Kenya David Maraga awumudde emirimu gye wakati mu kunyolwa okuva mu bannansi.

Maraga olunnaku olwaleero, amuwudde mu butongole emirimu gya Ssaabalamuzi.

Yatuula mu ntebe mu 2016 era mu kisanja kye, bannansi bagamba nti akoze bulungi nnyo emirimu gye omuli ekitongole ekiramuzi okwetengerera era bannansi bagamba nti okusazaamu okulonda kwa Pulezidenti mu 2017 olwa vulugu eyalimu, yayingira mu byafaayo.

Maraga ku myaka 69 yabadde ssaabalamuzi we Kenya ow’e 14.

Yalondebwa ng’omulamuzi mu 2003, ate mu 2012 nalondebwa ng’omulamuzi wa kkooti ejjulirwamu.

Musajja muzadde, alina abaana n’omukyala era abadde amumyuka we omulamuzi  Philomena Mwilu yagenda okusigala mu ntebe nga ssaabalamuzi ow’akaseera okutuusa nga ssaabalamuzi omuggya alondeddwa.