Poliisi mu Kampala ekutte abantu 6 ku misango gy’okwenyigira mu kutigomya abasuubuzi.

Abakwattiddwa bagiddwa ku Barton Street mu Kampala nga kivudde ku basuubuzi okwemulugunya ku babbi abeyongedde okubatigomya.

Kigambibwa ababbi, baludde nga banyakula amassimu g’abasuubuzi, okusala ensawo, okutwala ssente, amasaawa era bakwattiddwa okuyambako Poliisi mu kunoonyereza.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwate batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi mu Kampala ekya CPS ku misango gy’obubbi era sabiti ejja bakutwalibwa mu kkooti.

Mungeri y’emu agambye nti baludde nga batigomya abantu abakeera okusubula ssaako n’abo abanyuka ekikeereze okudda awaka.