Omuyimbi Margaret Nakayima amanyikiddwa nga Maggie Kayima Nabbi Omukazi asindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kigo ku misango gy’okufera abantu ensimbi eziri mu biriyoni 4 n’ekitundu (4.5B).
Nabbi Omukazi asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road mu maaso g’omulamuzi Dorothy Barigye ku misango 3 gy’okufera abantu ensimbi.
Okusinzira ku ludda oluwaabi, nga 15, omwezi oguwedde ogwa November mu bitundu bya Kampala ne Mutukula ku nsalo mu disitulikiti y’e Kyotera, Nabbi Omukazi yakweka Pasita Sirajje Ssemanda eyali anoonyezebwa ku misango gy’okubba abantu ensimbi.
Mu kkooti, Nabbi Omukazi yegaanye emisango gyonna era ng’ayita mu munnamateeka we Robert Rutaro asabye okweyimirirwa wabula omulamuzi Barigye okusaba kwe akujjuliza omulamuzi Gladys Kamasanyu era omusango agwongezaayo okutuusa nga 22 omwezi guno ogwa December.
Nabbi Omukazi ali ku misango n’abantu 3 omuli Pasita Ssemanda, munnamateeka Jimmy Arinaitwe abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ssaako ne Pasita Franklin Mugisha Mondo akyalina okwewozaako.
Ensimbi ezogerwako kigambibwa baziggya ku bantu Bombo, Luweero, Iganga, Kaliro, Tororo ne mu Kampala wakati wa 2014 ne 2020.