Okutya kweyongedde eri abalunzi b’embizzi mu Uganda olwa lipoota efulumiziddwa ng’embizzi obukadde 5 zolekedde okufa olw’ebbugumu okweyongera.
Alipoota efulumiziddwa ekibiina ky’obwanakyewa ekivunaanyizibwa kulima, okulonda n ‘okunoonyereza ekya International Livestock Research Institute.
Mw’alipoota, olw’ebbugumu okweyongera, embizzi zigenda kufuna ebirowoozo ekigenda okuvaako eziri mitwalo 25 okufa.
Mungeri y’emu, olw’ebbugumu tezigenda kufuna bwagazi kwegatta, ekigenda okuvaako omuwendo gwazo, okweyongera okendera n’ebbeeyi okweyongera okulinnya.
Abakugu balaze nti ebbugumu ligenda kutta mbizzi okwefananyirizaako n’omusujja gwazo.
Okusinzira ku Dr Emily Ouma, omu ku bakulembeddemu okunoonyereza, embizzi okufa, kigenda kuvirako abalunzi okweyongera okukaaba n’okusingira ddala abalunzi abato abaakayingira obulunzi olw’ensimbi zaabwe okufa.