Abakugu mu kunoonyereza ku nsonga z’omukwano balaze ebirungi ebiri ku basajja okukwatirira oba okunyogootola amabeere g’abakazi.
Okusinzira ku kitabo kya ‘The Chemistry Between Us: Love, Sex, and the Science of Attraction’ ekyawandikibwa bannassaayansi Larry Young ne Brian Alexander, bagamba nti omusajja yenna ng’ali ne muganzi we alina okukwata ku mabeere.
Young ne Alexander bagamba nti okukwata ku mabeere kiyamba omukyala yenna okufuna obwagazi bw’akaboozi era kiyamba okwanguyiriza omukyala yenna okwagala okwegatta mu bwangu.
Mungeri y’emu bagamba nti omukyala yenna okufuna obwagazi bw’akaboozi mulimu gwa musajja era abasajja okukwata ku mabeere, kiyambako abakyala okuta omubiri okusobola okwegatta.
Abakugu era bagamba nti olw’okuba amabeere galimu n’ebbugumu, abasajja bagettanira nnyo okugakwatako oba okugakwatamu okwetegekera olugenda lw’akaboozi.