Ssentebbe w’ekibiina ki National Resistance Movement- NRM Yoweri Kaguta Museveni ayongedde okulaga Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform- NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) engeri y’okuzannya ebyobufuzi.
Nga wasigadde nnaku mbale bannayuganda okulonda Pulezidenti w’eggwanga n’ababaka ba Palamenti, nate Bobi Wine asobeddwa eka ne mu kibira olw’abantu be bannakibiina okwongera okuva mu kibiina.
Twalib Osama musajja wa Bobi Wine abadde akutte kaadi ya NUP ku ky’omubaka wa Palamenti e Kumi avudde mu lwokaana neyeegatta ku NRM.
Osama agamba nti asazeewo okwegatta ku NRM oluvanyuma lw’okufuna obubaka obw’enjawulo obw’abantu abatamanyiddwa okumutisatiisa okumutta.

Agamba nti famire ye ebadde mu kutya n’okumusaba okuva mu lwokaana era kwekusalawo okudda mu NRM okusobola okutaasa obulamu.
Omumyuka wa Ssentebe wa NRM mu buvanjuba bw’eggwanga Capt. Mike Mukula eyakulembeddemu okulaga Osama eri bannamawulire akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga yagambye nti Osama yakoze okusalawo okutuufu.
Mukula agamba nti Osama agenda kugattibwa ku ttiimu y’abantu abanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu.
Eddoboozi lya Osama