Omuvubuka mu disitulikiti y’e Pallisa asse muganzi we ng’amuteebereza okwenda oluvanyuma ne yetwala ku Poliisi.

Akwattiddwa ye Simon Ochen myaka 20 omutuuze ku kyalo Omorio mu Tawuni Kanso y’e Agule mu disitulikiti y’e Pallisa ku by’okutta muganzi we Esther Lucy Asotto myaka 19 ku kyalo Chelekura mu ggoombolola y’e Chelekura olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga oluvanyuma lw’okumusanga n’omusajja omulala nga bali mu laavu.

George Emuria, akulira Poliisi y’e Agule agamba nti amangu ddala nga Ochen asse muganzi we Asotto yaddukidde ku Poliisi okusaba abasirikale okumusiba, kwe kutegeeza nti omulambo gukyali mu nnyumba.

Omulambo gwa Asotta gw’asangiddwa mu nnyumba n’ebiwundu ku bulago n’amabeere era Poliisi etandikiddewo okunoonyereza.

Emuria agamba nti Ochen aguddwako musango gwa butemu era wakutwalibwa mu kkooti amangu ddala nga Poliisi efundikidde okunoonyereza.

Ochen agamba nti Asotto abadde yekwasa nnyo nti mukoowu ne balemwa okusinda omukwano kyokka kiraga abadde amwendako era y’emu ku nsonga lwaki yamusse.