Omuvubuka Ronald Kiggundu myaka 16 asse batoobe babiri (2) okuli Ssemugenyi Julius 15 ne Ssebuuma Moses 13.
Entiisa ebadde ku kyalo Kamuli mu disitulikiti y’e Kasanda era abatuuze basigadde basobeddwa eka ne mu kibira, omwana omuto okutta abantu.
Kiggundu yasse batoobe sabiti ewedde oluvanyuma lw’okufuna ssente z’okupoota okuva ku nnyumba emu ku kyalo, kwe kubatta asobole okutwala ssente zonna.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Wamala Racheal Kawala, Kiggundu yakubye Ssemugenyi omuggo ku mutwe nafiirawo ate Ssebuuma yamutuze oluvanyuma n’asima ekinnya namuziika.
Kawala agamba nti Kiggundu asobodde okulemberamu Poliisi okubatwala mu kifo awaabadde emirambo era Poliisi esobodde okugyekebejja ne bagikwasa famire okuziika.
Ku Poliisi, Kiggundu agambye nti okulaba firimu y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okufuna obukodyo bwe yasobodde okweyambisa okutta batoobe.
Eddoboozi lya Kawala