Wakati mu kulwanyisa Covid-19 okusasaana, Poliisi y’e Katwe ekutte abantu 20 lwa kugaana kwambala masiki mu kikwekweeto ekikoleddwa.

Abakwate bagiddwa mu bitundu bye Katwe, Namasuba, Makindye, Nsambya n’ebitundu ebirala nga batambula mu Takisi, bodaboda era mu kiseera kino batwaliddwa ku Poliisi y’e Katwe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, bakwate olunnaku olw’enkya ku Mmande bagenda kubatwala mu kkooti ku misango gy’okwenyigira mu bikolwa ebiyinza okusasaanya Covid-19.