Poliisi y’e Kira mu Kampala eri mu kunoonyereza kabenje ak’emmotoka 7 akabaddewo mu kiro ekikeseza olwa leero ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.

Akabenje kabadde ku luguudo lwe Bukoto Kisasi era kigambibwa emmotoka magulukkumi namba UAZ 164D bwe yalemeredde ddereeve neyingirira emmotoka endala mukaaga (6) omuli UBF 722M Subaru, UBF 103D Volvo, UBF 722M ipsum, UBE 932H Mercedes Benz , UAZ 546F Premio ne UAX 153S Noah.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Asp Luke Owoyesigyire, abantu 3 bafiiriddewo nga bonna babadde mu mmotoka ekika kya Noah UAX 153S ate abalala batwaliddwa mu malwaliro ag’enjawulo nga bali mu mbeera mbi.

Mungeri y’emu Owoyesigyire agamye nti emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago nga Poliisi bw’enoonya ddereeva eyabadde avuga magulukkumi aliira ku nsiko mu kiseera kino n’okunoonyereza ekyavuddeko akabenje.