John Katumba omu ku besimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga lino avuddeyo ku bigambibwa nti asukkiridde okusembeza abakyala mu Kampeyini ze n’okwekubya ebifaananyi ng’alinga okunoonya omukyala ow’okuwasa singa akwata enkasi okulembera eggwanga lino.

Ebifaananyi ebitambula ku mikutu migatta bantu, biraga nti Katumba ku myaka 24 asukkiridde okwesembereza ebijuujulu wakati mu kunoonya akalulu n’okwekubya ebifaananyi bya ‘Selfie’.

Wabula Katumba agamba nti bannayuganda okuyaayana ennyo nga bamulabyeko ng’omukulembeze waabwe y’emu ku nsonga lwaki ebijuujulu byongedde okumwettanira.

Mungeri y’emu agambye nti ye muntu w’abantu, ekyongedde okusika abantu.

Katumba One

Katumba abadde akedde ku kakiiko k’ebyokulonda okuloopa ensonga ze, agambye nti akooye okuba Kampeyini ze wakati mu ddukaduka olw’ebitongole ebikuuma ddembe okumulemesa.

Mu kusooka, Katumba yatambulanga butambuzi enju ku nju okunoonya akalulu wabula mu kiseera kino, agamba nti yakafuna emmotoka 3 okuva mu bawagizi be okumuyambako okunoonya akalulu.

Emmotoka kuliko Hummer n’endala, ekyongedde okumuyamba okutuuka mu bantu.