Kyaddaki Ssentebbe w’ekibiina ki NRM era omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akawangamudde, bw’ategezezza tasobola kuwaayo buyinza eri bannamaggye okuli eyaliko Pulezidenti w’ekibiina ki FDC Dr. Kizza Besigye ssaako ne banne okuli Pulezidenti wa Alliance for National Transformation (ANT) Gen. Gregory Mugisha Muntu wamu ne Lt Gen. Henry Tumukunde kuba bonna tebalina mugaso.
Museveni nga yakulembeddemu NRM ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okubindabinda okwa 2021, bw’abadde asisinkanyeko abakulembeze mu kibiina mu disitulikiti y’e Kanungu ne Rukungiri ku kisaawe kya Monisipaali e Rukungiri, agambye nti mwetegefu okuwaayo obuyinza singa afuna omuntu omutuufu, okutwala eggwanga mu maaso.
Mungeri y’emu agambye nti ebigambo bya Besigye, Tumukunde ne Muntu okumusindikiriza okuwaayo obuyinza, bigendereddwamu okumunyiza okumenya amateeka kyokka ekyali mu ntebe ssi lwa kuba nti anoonya mulimu wabula ku lw’obulungi bw’eggwanga.
Museveni abadde omunyivu, agambye nti Besigye, Tumukunde ne Muntu okulemwa okubaako kye bakola ekyamagezi y’emu ku nsonga lwaki, tasobola kubakwasa buyinza era abalabudde okukomya okumusindikiriza nga ‘wheelbarrow’.
Wadde Museveni anokoddeyo abantu 3, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) akulembeddemu ekibiina kya NUP ku bukulembeze bw’eggwanga aliisa buti kuba tewali nsonga yonna lwaki Pulezidenti Museveni ayinza okulemwa okumukwasa obuyinza.
Eddoboozi lya Museveni